Deuteronomy 25

1 aAbantu babiri bwe banaabanga n’enkaayana, ensonga zaabwe ne bazitwala mu mbuga z’amateeka, abalamuzi ne babasalirawo, banaalangiriranga asinze n’oyo gwe gusinze. 2 bSinga oyo gwe gunaasiŋŋanga anaabanga asaanira okukubwangamu obuga, omulamuzi anaamugalamizanga wansi n’akubirwa mu maaso ge omuwendo gw’obuga obuggya mu musango gw’anaabanga azzizza, 3 cnaye nga tebusukka buga amakumi ana. Bwe bunaasukkanga omuwendo ogwo munnammwe anaabanga aswazibbwa nnyo mu maaso gammwe.

4 dEnte
Ente ezo zaakozesebwanga okuwuula emmere ey’empeke. Ente yasibibwanga ku lubengo olunene, ebigere byayo ne birinnyirira empeke, nga biggya ebikuta ku mpeke, ate olubengo nga bwe lussa empeke okuzifuulamu obuwunga.
temugisibanga mimwa bwe munaabanga mugikozesa okuwuula emmere ey’empeke.

Obuvunaanyizibwa eri Owooluganda Afudde

5 fAbooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu n’afa nga talina mwana wabulenzi, nnamwandu we tafumbirwanga musajja atali wa mu luggya lwa bba. Muganda wa bba anaatwalanga nnamwandu oyo n’amuwasa, n’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwa muganda we omugenzi eri nnamwandu oyo. 6 gOmwana owoobulenzi gw’anaasookanga okuzaala y’anaasikiranga erinnya lya muganda we omugenzi, bwe lityo erinnya ly’omugenzi ne litasangulwawo mu Isirayiri. 7 hNaye omusajja bw’anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga eri abakulembeze abakulu ab’omu kibuga kye, ku wankaaki, n’abagamba nti, “Muganda wa baze agaanye okuwangaaza erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Kubanga agaanye okutuukiriza gye ndi obuvunaanyizibwa bw’alina ku muganda we.” 8Abakulembeze abakulu b’omu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bw’anaakakanyalanga n’agamba nti, “Saagala kumuwasa,” 9 ikale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.” 10Oluggya lw’omusajja oyo lunaamanyibwanga mu Isirayiri ng’Oluggya lw’Omwambule Engatto.

Ebiragiro Ebirala

11Bwe wanaabangawo abasajja babiri abalwana, mukazi w’omu bw’anajjanga okutaasa bba ku mulabe we n’amukwata ebitundu bye eby’ekyama, 12 jomutemangako omukono gwe. Tomusaasiranga.

13 kTossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. 14Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri eby’enjawulo, ng’ekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. 15 lKikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa. 16 mKubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.

17 nTeweerabiranga Abamaleki bye baakukola bwe wali mu lugendo lwo ng’ova mu Misiri. 18 oBwe wali okooye nnyo nga n’amaanyi gakuweddemu, baakusanga mu lugendo lwo olwo, ne balumba abo bonna abaali basembyeyo emabega wo ne babatta; Katonda nga tebamutya. 19 pBw’olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’akumazeeko n’abalabe bo bonna ku njuyi zonna, ng’owummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki n’obamalirawo ddala bonna wansi w’eggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.

Copyright information for LugEEEE